Leviticus 5:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omuntu bw'akolanga ekibi olw'obutamanya, n'abaako ky'akola ku ebyo ebigaanibwa mu biragiro by'Omukama, anaabanga azzizza omusango era aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu yenna bw’anaayonoonanga n’akola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bw’anaabanga takitegedde, anazzanga omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era omuntu yenna bw'anaayonoonanga, nga tagenderedde n'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, ng'aliko omusango era anaabangako obubi bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'anaakolanga ekibi, wadde mu butanwa, ng'amenya ekimu ku biragiro bya Mukama, anaabeeranga n'omusango, era anaateekwanga okuwa omutango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu yenna bw'anaayonoonanga, ng'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga; newakubadde nga yali takimanyi, naye ng'aliko omusango, era anaabangako obubi bwe.