Leviticus 5:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'omutango, anaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo okuva mu kisibo kye, omuwendo gwayo nga bw'ogubaliridde. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe olw'ebisobyo bye bye yagwamu mu butanwa, era olwo anaasonyiyibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ebalirirwamu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. Kabona anaamutangiririranga olw’ekisobyo ky’anaabanga akoze nga tagenderedde, era anaasonyiyibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaatoolanga endiga ennume eteriiko bulema ng'agiggya mu ndiga ze, nga bw'anaasalirwanga okuba ekiweebwayo olw'omusango, ne kabona anaamutangiriranga naye, anaasonyiyibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaaleetanga eri kabona omutango gwa ndiga ennume eteriiko kamogo, gy'aggye mu ndiga ze. Omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, gunaabalirirwanga mu mbalirira entongole ey'omu Ssinzizo. Kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi kye yakola mu butanwa, omuntu oyo n'asonyiyibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo anaatoolanga endiga ennume eteriiko bulema ng'agiggya mu ndiga ze, nga bw'onoosalanga, okuba ekiweebwayo olw'omusango n'agireeta eri kabona: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekigambo kye yasobya nga tamanyiridde n'atakitegeera, naye anaasonyiyibwanga.