Leviticus 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oli bw'abanga akutte ku kintu ekitali kirongoofu, nga kalannamye w'ekisolo eky'ettale ekitali kirongoofu, oba kalannamye w'ekisolo eky'awaka ekitali kirongoofu, oba kalannamye w'ekyewalula ekitali kirongoofu, naye n'atakimanya, yennyini taabenga mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, gamba omulambo gw’ensolo ey’omu nsiko etali nnongoofu, oba ku mulambo gw’ente etali nnongoofu, oba ku mirambo gy’ebiramu ebyekulula ebitali birongoofu, ne bw’anaabanga takitegedde, anaabanga afuuse atali mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuntu yenna bw'anakomanga ku kintu ekitali kirongoofu nga kifudde, oba nsolo ya mu nsiko, oba ya mu nnyumba, oba ekyewalula nga tagenderedde, anaabanga atali mulongoofu era aliko omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bwe yeekoona ku kintu ekitali kirongoofu, gamba ng'omulambo gw'ensolo ey'omu ttale oba enfuge eteri nnongoofu, oba ogw'ekyewalula, nga tategedde, aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era oba ng'omuntu yenna akoma ku kintu ekitali kirongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nsiko eteri nnongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nnyumba eteri nnongoofu, oba mulambo gw'ebyewalula ebitali birongoofu, naye ng'akwekeddwa; n'aba atali mulongoofu, kale ng'aliko omusango: