Leviticus 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oba bw'aliba akutte ku bw'onoonefu bw'omuntu, kwe kugamba obutali bulongoofu ku muntu obuleetera munne obutaba mulongoofu, bubeere buno oba buli, yennyini n'atakimanya, amala akimanya oluvannyuma, anaabanga azzizza omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oba bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde mu muntu nga si kirongoofu mu buli ngeri yonna, ne kimufuula atali mulongoofu, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze nga kibi, anaabanga azzizza omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku muntu atali mulongoofu nga tagenderedde, bw'anaakimanyanga anaabangako omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bwe yeekoona ku kintu kyonna ekivudde ku muntu ekitali kirongoofu, nga tategedde aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era oba ng'akoma ku butali bulongoofu bw'omuntu bwonna bwonna obumufuula atali mulongoofu, naye ng'akwekeddwa; bw'anaakimanyanga, kale ng'aliko omusango: