Leviticus 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omuntu bw'alayiranga okukola ekintu, ekirungi oba ekibi, mu ebyo abantu bye bamala galayira, naye nga takitegedde, oluvannyuma bw'akitegeeranga, anaabanga azzizza omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu bw’anaayanguyirizanga okulayira okukola ekintu kyonna, oba kirungi oba kibi, ng’amaze galayira nga tafuddeeyo, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze bwe kiri, anaabanga azzizza omusango mu buli ngeri yonna gy’anaabanga alayiddemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuntu yenna bw'anaayanguyirizanga okulayira okukola obubi oba obulungi nga tagenderedde, bw'anaakimanyanga anaabangako omusango mu ekyo ky'alayidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'ayanguyiriza okweyama okukola ekirungi oba ekibi, nga tataddeeyo mwoyo, aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era oba ng'omuntu yenna alayira mangu n'emimwa gye okukola obubi, oba okukola obulungi, ekintu kyonna omuntu ky'anaayogeranga amangu n'ekirayiro, naye ng'akwekeddwa; bw'anaakimanyanga, kale ng'aliko omusango mu kimu ku bigambo ebyo: