Leviticus 5:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'omutango olw'ekibi ky'akoze, anaaweerezanga Omukama akaliga akaluusi, oba akabuzi akaluusi, k'aggye mu kisibo kye, kabeere ekitambiro olw'ekibi. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’aleeta ekiweebwayo kye olw’omusango eri Mukama olw’ekibi ekyo. Anaaleetanga endiga ento enkazi oba embuzi enkazi ng’abiggya mu kisibo kye, nga kye kiweebwayo olw’ekibi; era kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaaleetanga ekiweebwayo olw'omusango eri Mukama olw'ekibi ky'ayonoonye, omwana gw'endiga enkazi, oba embuzi enkazi ey'omu kisibo, ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'akoze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era omutango olw'omusango ogwo gw'azzizza, anaaleetanga eri Mukama endiga oba embuzi enkazi, ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'omuntu oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama olw'ekibi ky'ayonoonye, enkazi ey'omu kisibo, omwana gw'endiga oba mbuzi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye.