Leviticus 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bw'abanga akaliga takasobodde, aweerezanga Omukama amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri ng'omutango olw'ekibi kye. Akamu ka kitambiro olw'ekibi, ate akalala ka kitambiro ekyokye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omuntu bw’anaabanga omwavu, nga tasobola kuleeta ndiga nto olw’obwavu bwe, anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri eri Mukama, olw’ekibi omuntu oyo ky’akoze, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi, ekimu nga kye ky’ekiweebwayo olw’ekibi ekirala nga kye ky’ekiweebwayo ekyokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'anaabanga n'ebintu ebitono nga tasobola mwana gwa ndiga oba mbuzi, kale anaaleetanga eri Mukama bu kaamukuukulu bubiri oba amayiba amato abiri okuba ekiweebwayo olw'omusango olw'ekigambo ky'ayonoonye; akamu ka kiweebwayo olw'ekibi n'ak'okubiri ka kiweebwayo ekyokebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'anaabanga tasobola kuwaayo ndiga oba mbuzi olw'enfuna ye entono, anaaleetanga eri Mukama omutango olw'ekibi kye, enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, enjiibwa emu ya kiweebwayo olw'ekibi, endala ya kiweebwayo ekyokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'ebintu bye bitono n'okuyinza n'atayinza mwana gwa ndiga, kale anaaleetanga eri Mukama okuba ekyo ky'awaayo olw'omusango olw'ekigambo ky'ayonoonye, bukamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri; akamu ka kiweebwayo kya kibi, ak'okubiri ka kiweebwayo ekyokebwa.