Leviticus 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abuleeteranga kabona; oyo asookanga kuweeerezaako kamu ng'ekitambiro olw'ekibi; akanyoolanga omutwe aguggye ku nsingo, kyokka nga tagukutuliddeeko ddala,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaabireeteranga kabona, n’asooka okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaanyoolanga ensingo y’ekiweebwayo, naye nga tagikutuddeeko;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaabuleeteranga kabona, naye anaasookanga okuwaayo ak'ekiweebwayo olw'ekibi ng'anyoola omutwe gwako, naye n'atagukutulako, era n'atakasalamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaazireetanga eri kabona, kabona n'asooka okuwaayo eyo eweebwayo olw'ekibi, n'anyoola obulago bwayo, naye n'atagikutulako mutwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo anaabuleetanga eri kabona, naye anaasookanga okuwaayo ak'ekiweebwayo olw'ekibi, n'anyoola omutwe gwako ku bulago bwako, naye n'atakasalamu: