Leviticus 5:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo n'addira ku musaayi gwako n'amansira ebisenge by'omwaliiro. Omusaayi ogufisseewo gwonna aguyiwanga awo wansi w'omwaliiro. Kino kitambiro olw'ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mabbali g’ekyoto. Omusaayi gwonna ogunaabanga gusigaddewo anaaguttululiranga ku ntobo y’ekyoto. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'amansira ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi ku mabbali g'ekyoto, n'omusaayi ogusigaddewo anaagutonnyezanga ku ntobo y'ekyoto; ky'ekiweebwayo olw'ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amansira omusaayi gwayo ku mabbali g'alutaari, ogusigaddewo n'aguttulukusa ku ntobo y'alutaari. Ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo anaamansiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'ekibi ku mabbali g'ekyoto; n'omusaayi gwonna ogusigaddewo gunaatonnyezebwanga ku ntobo y'ekyoto: kye kiweebwayo olw'ekibi.