Leviticus 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebufumbibwanga nga mulimu ekizimbulukusa, kubanga gwe mugabo gwabwe gwe mbawadde ku bimpongeddwa n'omuliro. Okufaanana ng'ekitambiro olw'ekibi n'ekitambiro olw'omusango na kino kitukuvu nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona anaayambalanga ebyambalo bye ebya bafuta, ng’asooseemu eby’omunda ebya bafuta ku mubiri gwe, n’addira evvu eriri mu kyoto ery’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto, n’alissa wabbali w’ekyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekya bafuta, ne seruwale ye eya bafuta; kale anaatwalanga evvu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro n'aliteeka ku mabbali g'ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekyeru, n'empale ye enjeru, n'asitula evvu eriva ku kiweebwayo ekyokeddwa ku alutaari, n'aliteeka ku mabbali g'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekya bafuta, ne seruwale ye eya bafuta anaagyambalanga ku mubiri gwe; kale anaasitulanga evvu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa omuliro kye gwokezza ku kyoto, era anaaliteekanga ku mabbali g'ekyoto.