Leviticus 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'ezzadde lya Aroni abasajja bayinza okukiryako. Guno gwe mugabo gwabwe ogw'olubeerera ku biwongeddwa Omukama n'omuliro mu mazadde gaabwe gonna. Buli kyonna ekikikoonako kifuuka kitukuvu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aneeyambulangamu ebyambalo ebyo, n’ayambala ebyambalo ebirala, n’asitula evvu n’alitwala ebweru w’olusiisira mu kifo ekirongoofu eky’emikolo ng’egyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo anaayambulangamu ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira mu kifo weriyiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo anaayambulangamu ebyambalo ebyo n'ayambala ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira, mu kifo ekibalibwa nga kirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo anaayambulanga ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu.