Leviticus 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yagamba Musa nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuliro gunaasigalanga nga gwaka ebbanga lyonna, teguuzikirenga. Buli nkya kabona anaayongerangako enku ku kyoto; era anaatereezangako ekiweebwayo ekyokebwa ng’akitegese bulungi; era anaayokerangako amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayongerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuliro oguli ku alutaari gunaakuumibwanga nga gwaka, awatali kuzikira n'akatono. Buli nkya kabona anaaguteekangako enku, n'atereezaako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaagwokerangako amasavu ag'ekiweebwayo olw'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayokerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe.