Leviticus 6:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Busiikibwanga mu lusaniya n'omuzigo. Obuleetanga nga bugoye bulungi, ekitone eky'obuwunga n'okisalaasalamu obutundu, akawoowo akasanyusa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era lino ly’etteeka ery’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke. Batabani ba Alooni banaaleetanga ekiweebwayo ekyo awali Mukama mu maaso g’ekyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiweerangayo mu maaso ga Mukama, mu maaso g'ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gano ge mateeka aganaafuganga ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke: kabona ow'olulyo lwa Arooni anaabiwangayo eri Mukama mu maaso g'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiwecrangayo mu maaso ga Mukama mu maaso g'ekyoto.