Leviticus 6:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kitone kya bakabona eky'obuwunga kya kwokyanga kisirikke; tekiriibwanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Alooni banaalyanga ekisigaddewo, naye nga tebaliiramu kizimbulukusa mu kifo ekyo ekitukuvu; banaakiriiranga mu luggya lw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekyo ekinaafikkangawo, nga tekirimu kizimbulukusa, Alooni n'abaana be banaakiriranga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisigaddewo, Arooni ne batabani be banaakiryanga. Kinaafumbibwangamu emigaati egitazimbulukusiddwa, ne giriirwa mu Kifo Ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekyo ekinaafikkangawo Alooni n'abaana be banaakiryanga: kinaaliirwanga awatali kizimbulukusa mu kifo ekitukuvu; mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu mwe banaakiriiranga.