Leviticus 6:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yagamba Musa nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tekiiyokerwengamu kizimbulukusa. Nkibawadde nga kye kinaabanga omugabo gwabwe ogw’oku biweebwayo byange ebyokebwa, kye kintu ekitukuvu ennyo okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo olw’omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tekyokebwanga nga kitabuddwamu ekizimbulukusa. Nkibawadde okuba omugabo gwabwe ku byange ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tekiifumbirwengamu kizimbulukusa. Nze Mukama nkiwadde bakabona, kibe omugabo gwabwe, ku byange ebiweebwayo okwokebwa. Kitukuvu nnyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ng'omutango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tekyokebwanga n'ekizimbulukusa. Nkibawadde okuba omugabo gwabwe ku byange ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango.