Leviticus 6:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Aroni ne batabani be nti: ‘Lino lye tteeka ery'ekitambiro olw'ekibi: ekitone kya kuttirwanga mu maaso g'Omukama ebitone eby'ekitambiro ekyokye we bittirwa, anti kitukuvu nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli mwana mulenzi ava mu Alooni anaayinzanga okukiryako, ng’etteeka ery’emirembe gyonna bwe ligamba erifa ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Buli anaabikwatangako anaafuukanga mutukuvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli musajja ku baana ba Alooni, ng'etteeka ennaku zonna, mu mirembe gyammwe gyonna, banaalyanga ku biweebwayo bya Mukama ebyokebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mirembe gyonna egijja, buli musajja ku b'olulyo lwa Arooni, anaayinzanga okukiryako, ng'omugabo gwabwe ogw'olubeerera, ku byokulya ebiweebwayo eri Mukama. Buli anaakikoonangako, anaabanga mutukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli musajja ku baana ba Alooni banaakiryangako, okuba ebbanja ennaku zonna mu mirembe gyammwe gyonna, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu.