Leviticus 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lagira Aroni ne batabani be nti: ‘Lino lye tteeka ly'ekitambiro ekyokye: kwe kugamba, ekitone eky'ekitambiro ekyokye kisigalanga ku kyoto ky'oku mwaliiro ekiro kyonna okutuusa enkeera, n'omuliro gw'oku mwaliiro gusigalanga gumema ku mwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu bw’anaayonoonanga n’amenya obwesigwa eri Mukama olw’okulimbalimba munne ku kye yamuteresa, oba kye yamukwasa, oba omuntu oyo kye yabba; oba bw’anabbiranga munne,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu ebyo bye yateresebwa; oba ebyo ebyamusingirwa oba n'amunyaga oba n'amujooga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Wanaabangawo ekiweebwayo, omuntu bw'anaakolanga ekibi mu maaso ga Mukama, ng'agaana okuzzaayo ekintu, Muyisirayeli munne kye yamulekera ng'omusingo, oba ng'amubbako ekintu, oba ng'amulyazaamaanya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu bigambo eby'okuteresa, oba mu by'okulamulagana, oba mu by'okunyaga, oba bw'abanga ajooze muliraanwa we;