Leviticus 6:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kyonna ekirikoona ku nnyama yaakyo kirifuuka kitukuvu. Omusaayi gwakyo bwe gumansukiranga ku kyambalo; ekyambalo kyolezebwanga mu kifo ekitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kino ky’ekiweebwayo Alooni ne batabani be kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lwe banaafukibwangako amafuta ag’omuzeeyituuni: ekitundu eky’ekkumi ekya liita bbiri, nga kilo emu ey’obuwunga obulungi, nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kisalirwa wakati ekitundu ekimu, enkya, n’ekitundu ekirala, akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta: ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi, okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekitundu kyabwo akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kino kye kitone abooluganda lwa Arooni kye banaawangayo eri Mukama, ku lunaku lwe banaasiigirwangako omuzigo okwawulibwa. Banaawangayo kilo emu ey'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, ng'eyo eweebwayo buli lunaku, ekitundu kyabwo ekimu ku makya, n'ekitundu kyabwo ekirala olweggulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta; ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekitundu kyabwo akawungeezi.