Leviticus 6:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entamu ekitambiro mwe kifumbirwa eyasibwanga. Bwe kifumbirwanga mu ntamu ey'ekikomo, ekuutibwanga n'eyozebwa n'amazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bunaafumbibwanga n’amafuta ag’omuzeeyituuni ku fulampeni, ne butabulwa bulungi, ne buweebwayo eri Mukama nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bunaagoyebwanga n'amafuta ku kikalango; on'obuleetanga nga butabuddwa bulungi mu bitole ebyokeddwa, nga bwe kiri mu kiweebwayo eky'obutta, okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bunaatabulwangamu omuzigo, ne bufumbirwa ku lusaniya olusiikirwako. Bwe bunaamalanga okusiikibwamu ebitole, ne buleetebwa okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'emmere ey'empeke. Akaloosa kaakyo kasanyusa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku kikalango kwe bunaafumbirwanga n'amafuta; bwe bumalanga okunnyikira, n'olyoka obuyingiza: onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta mu bitole ebyokye okuba evvumbe eddungi eri Mukama.