Leviticus 6:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli wa bulenzi yenna ow'omu kika kya bakabona ayinza okukiryako. Kitambiro kitukuvu nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona ow’omu baana ba Alooni anaabanga afukiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni okumusikira, y’anaakiwangayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira emirembe gyonna; ekiweebwayo kyonna kinaayokebwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kabona ava mu lubu lwa Alooni, eyafukibwako amafuta okumusikira, anaakiwangayo eri Mukama, ne kyokebwa kyonna, ng'etteeka eritajjulukuka ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mirembe gyonna egijja, ekitone kino kinaaweebwangayo buli muzzukulu wa Arooni akola obwassaabakabona. Kinaayokebwanga kyonna ekiramba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabona eyafukibwako amafuta anaabanga mu kifo kye ow'oku baana be ye anaakiwangayo: kinaayokebwanga kyonna eri Mukama olw'etteeka eritalijjulukuka ennaku zonna.