Leviticus 6:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekitambiro kyonna olw'ebibi, omusaayi gwakyo oguyingiziddwa mu Weema ey'Ensisinkano okuddaabiriza eri mu kitukuvu, kyo tekiriibwanga, kyokebwanga ku muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kiweebwayo kyonna eky’emmere ey’empeke kabona ky’anaawangayo kinaayokebwanga bulambalamba; tekiiriibwenga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna; tekiriibwanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitone eky'emmere ey'empeke ekiweebwayo kabona, tekiiriibwengako. Kinaayokebwanga kyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna: tekiriibwanga.