Leviticus 6:25 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza Alooni ne batabani be nti bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’ekibi. Ekiweebwayo olw’ekibi kinattirwanga mu maaso ga Mukama awo wennyini ebiweebwayo ebyokebwa we bittirwa; kiweebwayo kitukuvu nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba Alooni n'abaana be nti, Lino ly'etteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa, n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama; kye kitukuvu ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ategeeze Arooni ne batabani be nti: “Lino lye tteeka erinaafuganga ebiweebwayo olw'ekibi. Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama. Ekiweebwayo kino kitukuvu nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama: kye kitukuvu ennyo.