Leviticus 6:27 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli ekinaakoonanga ku nnyama y’ekiweebwayo ekyo, kinaafuukanga kitukuvu; era ogumu ku musaayi gwakyo bwe gunaamansukiranga ekyambalo, kinaayozerwanga mu kifo ekitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu; era omusaayi bwe gunaamansirwanga ku kyambalo kyonna, kinaayolezebwanga mu kifo ekitukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli ekinaakoonanga ku nnyama yaakyo, kinaabanga kitukuvu. Era ekyambalo ekinaamansirwangako omusaayi gwakyo, banaakyolezanga mu Kifo Ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu: era bwe kunaamansirwanga ku musaayi gwakyo ku kyambalo kyonna, onooyolezanga ekyo ekimansiddwako mu kifo ekitukuvu.