Leviticus 6:28 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensaka ey’ebbumba mwe kinaafumbirwanga eneeyasibwanga; naye bwe kinaafumbirwanga mu nsaka ey’ekyuma, eneekuutibwanga n’emunyunguzibwamu n’amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga; era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaakuutibwanga era ne kinyumunguzibwa n'amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entamu ey'ebbumba efumbiddwamu ennyama yaakyo, eneeyasibwanga. Naye bw'eneefumbibwanga mu ntamu ey'ekikomo, entamu eyo eneekolokotebwanga n'eyozebwa n'amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga: era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaasiimuulwanga era kinaayozebwanga n'amazzi.