Leviticus 6:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kabona ayambalanga ekkanzu ey'olugoye, ne munda empale ey'olugoye, olwo n'addira evvu ly'amasavu ag'ekitambiro ekyokye, omuliro gwe gasiriizizza ku mwaliiro, n'alissa ku mabbali g'omwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oba bw’anaazuulanga ebyali bibuze naye n’alimba; oba bw’anaalayiranga eby’obulimba, oba bw’anaayonoonanga mu bintu ng’ebyo byonna abantu mwe batera okwonoona,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba mu bigambo byonna ku ebyo byonna omuntu byakola ng'ayonoona bw'atyo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
oba ng'azudde ekyabula n'akiryazaamanya, n'alayira nti takirabanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba; mu kigambo kyonna ku ebyo byonna omuntu ky'akola ng'ayonoona bw'atyo;