Leviticus 6:30 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekiweebwayo olw’ekibi, omusaayi gwakyo nga guleeteddwako mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu olw’okwetangirira mu kifo ekyo ekitukuvu, tekiiriibwenga, kyonna kinaayokebwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tewabangawo kiweebwayo olw'ekibi ekitooleddwako omusaayi gwakyo nga guyingizibbwa mu Weema ey'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, ekinaalibwangako; wabula kinaayokebwanga n'omuliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye singa omusaayi gwakyo guleetebwa mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ne gukozesebwa mu mukolo ogw'okuddaabiriza olw'ekibi, tekiiriibwengako; kinaayokebwanga bwokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewabanga kiweebwayo lwa kibi, kye batoolako ku musaayi gwakyo ne baguyingiza mu weema ey'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, kye balyako; kinaayokebwanga n'omuliro.