Leviticus 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeeyambulanga ebyambalo ebyasoose, n'ayambala ebyambalo ebirala, evvu ly'amasavu n'alifulumya ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bw’anaayonoonanga bw’atyo anaabangako omusango; kinaamusaaniranga okuzzaayo ebyo bye yabba oba bye yanyaga, oba bye yateresebwa oba ebyo ebyali bibuze naye n’abizuula,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale anaabanga ayonoonye, era ng'aliko omusango. Annaazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyamuteresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'abangako ekibi ky'akoze mu kimu ku ebyo byonna, anazzangayo ekyo kye yanyaga oba kye yafuna mu bukumpanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale olunaatuukanga bw'aba ng'ayonoonye era ng'aliko omusango, anazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyateresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula