Leviticus 6:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gwo omuliro gusigalanga gumema ku mwaliiro, teguzikiranga; kabona aguliikirizanga n'enku ku makya buli lunaku nga bw'assaako ekitambiro ekyokye, kungulu n'ayokerako amasavu g'ebitambiro eby'okussa ekimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oba ekintu kyonna kye yalayirirako eby’obulimba. Anaaliwanga mu bujjuvu era anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano eky’ebyo by’aliwa; bw’atyo anaabiddizanga nnyinibyo ku lunaku omuntu oyo lw’anaaleeterangako ekiweebwayo olw’omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo ekyokutaano; alikiwa nannyini kyo ku lunaku lw'alizuulibwa ng'aliko omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku lw'alizuulibwa nti alina omusango, anaasasulanga mu bujjuvu nnannyini kintu ekyo, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo eky'okutaano: nannyini kyo gw'alikiwa ku lunaku lw'alirabika ng'aliko omusango.