Leviticus 6:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuwunga obusigadde Aroni ne batabani be babulyanga, naye nga temuli kizimbulukusa; buliirwanga mu kifo ekitukuvu mu luggya lwa Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lagira Alooni ne batabani be nti: Lino lye tteeka ery’ebiweebwayo ebyokebwa. Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabeeranga ku kyoto ekiro kyonna okutuusa enkeera, era omuliro gw’omu kyoto gunaabanga gwaka ebbanga lyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Lagira Alooni n'abaana be nti lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nku zaakyo ku kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuliro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
awe Arooni ne batabani be amateeka aganaafuganga ebiweebwayo ebyokebwa. Ekiweebwayo ekyokebwa, kinaasigalanga ku nku ku alutaari ekiro kyonna, era omuliro gunaakuumibwanga nga gwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lagira Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nku zaakyo ku kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuliro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga.