Leviticus 7:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na buli kitone kya buwunga, oba kirimu omuzigo oba kikalu, kya batabani ba Aroni nga bakigabana kyenkanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era na buli kiweebwayo eky’empeke ekya buli ngeri, nga kitabuddwa mu mafuta ag’omuzeeyituuni oba nga kikalu kyereere, batabani ba Alooni be banaakitwalanga nga bakigabana kyenkanyi buli omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta oba ekitatabuddwamu, kinaatwalibwanga abaana ba Alooni bonna ne bakigabana kyenkanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebitone ebiweebwayo byonna eby'emmere ey'empeke ebitali bifumbe, ebitabuddwamu omuzigo, oba ebikalu, binaabanga bya bakabona bonna ab'olulyo lwa Arooni, era banaabigabananga kyenkanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekitabulwamu amafuta oba kikalu, abaana ba Alooni bonna banaabanga nakyo, buli muntu okwenkana ne munne.