Leviticus 7:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Lino lye tteeka ly'ekitambiro eky'okussa ekimu oli ky'ayinza okuweereza Omukama:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bino by’ebiragiro eby’ekiweebwayo olw’emirembe omuntu ky’anaawangayo eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era lino lye tteeka erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, omuntu by'anaawangayo eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Lino lye tteeka erifuga ekitambiro ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era lino lye tteeka erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe omuntu by'anaawangayo eri Mukama