Leviticus 7:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oba akiweerezza lwa kwebaza, wa kuweererezanga ku kitambiro eky'okwebaza bukkeeki obutazimbulukuse, nga mulimu omuzigo, oba emigaati egy'oluwewere egitazimbulukuse ng'agisiizeko omuzigo, ne bukabalagala obufumbe mu buwunga obukuŋŋunte obulungi, obugoyeddwa obulungi obutabuddwamu omuzigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’anaakiwangayo olw’okwebaza, ekiweebwayo ekyo anaakigattirangako zikkeeke ezitabuliddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni kyokka nga temuli kizimbulukusa, n’obusukuuti obw’oluwewere nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, ne zikkeeke ez’obuwunga obulungi ennyo nga zigoyeddwa bulungi mu mafuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'anaagiwangayo olw'okwebaza, kale anaagiweerangayo wamu ne ssaddaaka ey'okwebaza, ey'emigaati egitazimbulukusiddwa egitabuddwamu amafuta, n'egy'empewere egitazimbulukusiddwa egitabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta obunnyikidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'anaawangayo ekitambiro kino nga kya kwebaza Katonda, anaaweerangako n'ekitone eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, egitabuddwamu omuzigo, oba egy'empewere, egisiigiddwako omuzigo, oba emigaati egikoleddwa mu buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ne bunnyikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba ng'agiwaayo olw'okwebaza, kale anaaweerangayo wa mu ne ssaddaaka ey'okwebaza emigaati egitazimbulukuswa egitabuddwamu amafuta, n'egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigiddwako amafuta, n'emigaati egitabudwamu amafuta, egy'obutta obulungi obunnyikidde.