Leviticus 7:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku buli kimu ajja kuggyangako ekitundu ng'ekitone eky'Omukama. Kinaabanga kya kabona anaabanga amansidde omusaayi gw'ekitambiro eky'okussa ekimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku buli kimu ku biweebwayo ebyo anaggyangako omugaati gumu n’aguwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; kabona anaamansiranga omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’emirembe y’anaatwalanga ekiweebwayo ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku ssaddaaka ey'emirembe anaawangayo omugaati gumu ku buli kiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gunaabanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaawangayo eri Mukama omugaati gumu ku buli kika eky'emigaati egyo. Gunaabanga gwa kabona amansira omusaayi gw'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku yo anaawangayo gumu ku buli kitone okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gunaabanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe.