Leviticus 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyama y'ekitambiro eky'okussa ekimu olw'okwebaza eriibwanga ku lunaku olwo lwennyini lwe kiweerezeddwa; talekangawo kantu okutuusa enkeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyama y’ebiweebwayo by’omuntu oyo by’aleese olw’emirembe olw’okwebaza eneeriibwanga ku lunaku olwo lwennyini olw’ebiweebwayo bye ebyo; tekubangako gy’asuzaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ennyama eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw'agiweerako; tafissangako okutuusa enkya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyama y'ekitambiro ekyo, eneeriibwanga ku olwo lwe kitambiddwa, tewaabenga esulawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ennyama eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw'agiweerako; tafissangako okutuusa enkya.