Leviticus 7:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ekitambiro bwe kiba eky'okutuukiriza obweyamo, oba ekyeyagalire, nakyo kiriirwangawo ku olwo; kyokka bwe wabangawo ekifisse, kikyayinza okuliibwa ne ku lunaku oluddirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye omuntu bw’anaawangayo ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo, oba olw’okweyagalira, kinaaliibwanga ku lunaku olwo lwennyini lw’akiwaddeyo; ekinaasigalangawo ku kiweebwayo ekyo kinaaliibwanga enkeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'anaawangayo ssaddaaka nga ya bweyamo oba gy'awaayo nga yeeyagalidde, eneeriibwanga ku lunaku olwo lw'agiwaddeyo, era eneefikkangawo eneeriibwanga n'enkya;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye ekitambiro omuntu ky'awaayo bwe kiba eky'okutuukiriza obweyamo, oba ky'awaayo nga yeeyagalidde, ennyama yaakyo eneeriibwanga ku olwo lwe kitambiddwa, era efikkawo eneeriibwanga enkeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oba nga ssaddaaka gy'awaayo bweyamo, oba gy'awaayo ku bubwe, enerriibwanga ku lunaku lw'aweerako saddaaka ye: n'enkya ekinaafikkangako kinaaliibwanga;