Leviticus 7:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyama y'ekitambiro lunaku olwokusatu gye lusiŋŋaanangawo eyokebwanga bwokebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyama ey’ekiweebwayo eneefikkangawo n’etuusa ku lunaku olwokusatu eneeyokebwanga mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bw'eneefikkanga okutuusa ku lunaku olwokusatu, eneeyokebwanga n'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ennyama eyo efikkawo n'etuuka ku lunaku olwokusatu, eneeyokebwanga omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ekinaafikkanga ku nnyama eya ssaddaaka ku lunaku olw'okusatu kinaayokebwanga n'omuliro.