Leviticus 7:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wabangawo ennyama y'ekitambiro eky'okussa ekimu eriibwa ku lunaku olwokusatu, eyo tegenda kusiimibwa; agiweerezza teribaako ky'emugasa, kubanga eriba yeenyinyalwa, era agiryangako aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyama y’ekiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe bw’eneeriibwanga ku lunaku olwokusatu, ekiweebwayo ekyo Mukama taakikkirizenga, n’oyo akiwaddeyo tekiimubalirwengako kubanga tekiibenga kirongoofu, ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyama eyo bw'eneeriibwangako ku lunaku olwokusatu, Mukama taagikkirizenga nga ssaddaaka. Eneebanga ya muzizo, era omuntu anaagiryangako anaafuukanga atali mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyama eyo bw'eneeriibwangako ku lunaku olwokusatu, Mukama takkirizenga kitambiro, era taakibalirenga oyo akiwaddeyo. Eneebanga kyenyinyalwa, era buli anaagiryangako, anaafuukanga atali mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'ennyama yonna eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eneeiibwanga ku lunaku olw'okusatu, tekkirizibwenga, so teemubalirwenga oyo agiwaayo: eneebanga ya muzizo, n'omwoyo ogunaagiryangako gunaabangako obubi bwe.