Leviticus 7:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ennyama ekoonye ku kintu ekitali kirongoofu teriibwanga, eyokebwanga bwokebwa. Yo ennyama endala omuntu yenna omulongoofu ayinza okugirya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ennyama eneekoonanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teeriibwenga, wabula eneeyokebwanga mu muliro; naye ku nnyama endala omuntu yenna omulongoofu anaayinzanga okulyako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ennyama ekoma ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teriibwenga; eneeyokebwanga n'omuliro. Ennyama eyo, buli mulongoofu ye anaagiryangako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyama bw'eneekoonanga ku kintu ekitali kirongoofu, teeriibwengako, eneeyokebwanga bwokebwa. “Buli abalibwa okuba omulongoofu, ye anaalyanga ku nnyama ey'ekitambiro kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ennyama ekoma ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teriibwanga; eneeyokebwanga n'omuliro. N'ennyama eyo, buli mulongoofu anaagiryangako: