Leviticus 7:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kyokka omuntu atali mulongoofu bw'alyanga ku nnyama y'ekitambiro eky'okussa ekimu ekiweerezeddwa Omukama, akutulwanga ku bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuntu atali mulongoofu bw’anaalyanga ku nnyama ey’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, anaaboolebwanga nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuntu atali mulongoofu bw'anaalyanga ku ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekya Mukama anaaboolebwanga okuva mu bantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omuntu anaagiryangako nga si mulongoofu, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye omwoyo ogunaalyanga ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, ng'aliko obutali bulongoofu bwe, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.