Leviticus 7:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'oli bw'akwatanga ku muntu atali mulongoofu oba ekisolo ekitali kirongoofu, oba ekintu kyonna ekyenyinyalwa, ate n'alya ku nnyama ey'ekitambiro eky'okussa ekimu, akutulwanga ku bantu be.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, obanga kivudde mu muntu oba mu nsolo, oba ekintu kyonna ekikyayibwa ekitali kirongoofu, ate n’alya ku nnyama y’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu, oba obutali bulongoofu obw'omuntu oba obw'ensolo, oba ekintu ekirala kyonna eky'omuzizo; n'alya ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ebya Mukama, anaaboolebwanga okuva mu bantu be.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era omuntu bw'anaakoonanga ku kintu ekitali kirongoofu, ekiva ku muntu oba ku nsolo, oba ku kintu ekirala eky'omuzizo, n'alya ku nnyama y'ekitambiro ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana, omuntu oyo anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku kintu ekitali kirongoofu, obutali bulongoofu bw'omuntu, oba ensolo eteri nnongoofu, oba eky'omuzizo kyonna ekitali kirongoofu, n'alya ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.