Leviticus 7:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amasavu g'ennyama ya kalannamye oba ag'ensolo etaaguliddwa ku ttale muyinza okugeyambanga mu ngeri endala yonna, naye temugalyanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amasavu g’ensolo efudde obufi yokka, n’amasavu g’eyo etaaguddwataaguddwa ensolo endala munaagakozesanga ku bintu ebirala byonna eby’omugaso, naye tekabatandanga ne mugalyako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amasavu g'eyo efa yokka, n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo, ganaabanga ag'emirimu emirala gyonna; temugalyangako n'akatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amasavu g'ensolo efudde yokka, n'amasavu g'eyo ettiddwa ensolo enkambwe, tegaaliibwenga n'akatono, naye ganaayinzanga okukozesebwa olw'emigaso emirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amasavu g'eyo efa yokka n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo ganaabanga ga mirimu mirala gyonna: naye okulya temugalyangako n'akatono,