Leviticus 7:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli alyanga ku masavu g'ekitone ekinaawerezebwa Omukama mu kitambiro ekiwonge n'omuliro wa kukutulwanga ku bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga buli muntu anaalyanga ku masavu ag’ensolo eneevangako ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro, anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli alya ku masavu g'ensolo eweebwayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaaboolebwanga mu bantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli alya amasavu g'ensolo abantu gye bawaayo eri Mukama ng'ekiweebwayo ekyokebwa, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli alya ku masavu g'ensolo, abantu gye bawaayo okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, omwoyo ogwo ogunaagalyangako gunaazikirizibwanga mu bantu be.