Leviticus 7:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Aweereza Omukama ekitone eky'okussa ekimu, anaaweererezangako ekitundu ng'ekitambiro olw'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omuntu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’emirembe eri Mukama, anaawangayo eri Mukama Katonda ekitundu kyakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba abaana ba Isiraeri nti Buli anaawangayo ssaddaaka olw'emirembe eri Mukama anaaleetanga ekiweebwayo kye eri Mukama;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ategeeze Abayisirayeli nti: “Buli awaayo ekitambiro olw'okutabagana, anaaleetanga ekitundu kyakyo, kibe ekitone eri Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba abaana ba Isiraeri nti Awaayo ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eri Mukama anaaleetanga ekitone kye eri Mukama ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe: