Leviticus 7:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akireetanga yennyini mu mikono gye ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro. Wa kuleetanga amasavu n'ekifuba; ekifuba n'akiwuubira mu maaso g'Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaakisitulanga n’engalo ze n’akireeta eri Mukama Katonda nga kye kiweebwayo kye ekyokeddwa mu muliro. Amasavu n’ekifuba nabyo anaabireetanga, n’awuubawuuba ekifuba mu maaso ga Mukama, ng’ekyo kye kiweebwayo ekiwuubibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ye yennyini anaaleetanga ebiweebwayo bya Mukama ebyokebwa n'omuliro mu ngalo ze. Anaaleetanga amasavu n'ekifuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'akireeta ye yennyini mu ngalo ze, kibe ekiweebwayo ekyokebwa. Anaaleetanga amasavu n'ekifuba, bibe ekitone ekiwuubibwa eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
engalo ze yennyini zinaaleetanga ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; amasavu n'ekifuba anaabireetanga, ekifuba kiwuubibwewuubibwenga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.