Leviticus 7:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisambi ekya ddyo kye kinaabanga omugabo gwa mutabani wa Aroni anaabanga aweerezza omusaayi n'amasavu ag'ekitambiro eky'okussa ekimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutabani wa Alooni anaabanga awaddeyo omusaayi n’amasavu eby’ekiweebwayo olw’emirembe, y’anaafunanga ekisambi ekya ddyo nga gwe mugabo gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, n'amasavu, y'anaatwalanga ekisambi ekya ddyo okuba omugabo gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo ku b'olulyo lwa Arooni akoze ku musaayi ne ku masavu, ye anaakiweebwanga kibe omugabo gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, n'amasavu, y'anaabanga n'ekisambi ekya ddyo okuba omugabo gwe.