Leviticus 7:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekifuba ekiwuubiddwa n'ekisambi ekya ddyo ekitoneddwa mbiggye ku bitone by'Abayisirayeli bye baleeta olw'ekitambiro kyabwe eky'okussa ekimu, ne mbiwa Aroni Kabona ne batabani be ng'omugabo gwabwe ogw'olubeerera okuva mu Bayisirayeli.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku kiweebwayo olw’emirembe eky’abaana ba Isirayiri, nzigyeko ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi, ne mbiwa kabona Alooni ne batabani be, nga gwe gunaabanga omugabo gwabwe ogunaavanga mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye nzigye ku baana ba Isiraeri ku ssaddaaka z'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, mbiwadde Alooni kabona n'abaana be, okuba omugabo gwabwe emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekifuba ekiwuubibwa, n'ekisambi ekya ddyo ekisitulibwa, bye nzigye ku Bayisirayeli, ku bitambiro bye bawaayo olw'okutabagana, ne mbiwa Arooni n'abaana be. Bino Abayisirayeli banaateekwanga okubiwa bakabona ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye nziye ku baana ba Isiraeri ku ssaddaaka z'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, n'embiwa Alooni kabona n'abaana be, okuba ebbanja emirembe gyonna eri abaana ba Isiraeri.