Leviticus 7:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gwe guugwo omugabo ogwaweebwa Aroni kabona ne batabani be ku biwongerwa Omukama n'omuliro ku lunaku lwe yabasimbawo baweereze Omukama nga bakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Guno gwe mugabo nga guva ku biweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ogwagerekerwa Alooni ne batabani be ku lunaku lwe baaleetebwa eri Mukama okumuweereza nga bakabona be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ogwo gwe mugabo ogw'okufukibwako amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwako amafuta ogw'abaana be, oguggyibwa ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro, ku lunaku lwe baafukibwako amafuta okuweereza Mukama mu bwakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ogwo gwe mugabo oguggyibwa ku byokulya ebiweebwayo eri Mukama, ogwaweebwa Arooni ne batabani be ku lunaku lwe baafukibwako omuzigo, ne baawulibwa okuweereza Mukama mu bwakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ogwo gwe mugabo ogw'okufukibwako amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwako amafuta ogw'abaana be, oguggibwa ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, ku lunaku lwe yabaleeterako okuweereza Mukama mu bwakabona;