Leviticus 7:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku lwe baasiigibwa omuzigo Omukama yalagira Abayisirayeli bagubawe ng'omugabo gwabwe ogw'olubeerera amazadde gaabwe gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku lwe baafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni, Mukama Katonda yalagira nti abaana ba Isirayiri babibawenga okubeeranga omugabo gwabwe, ogw’enkalakkalira emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Guno gwe gunaabanga omugabo gwabwe mu mirembe gyabwe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo Mukama yalagira Abayisirayeli okubawanga omugabo ogwo. Ekyo Abayisirayeli banaateekwanga okukituukiriza ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama gwe yalagira okubawanga abaana ba Isiraeri; ku lunaku lwe yabafukirako amafuta. Linaabanga bbanja ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.