Leviticus 7:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ge yawa Musa ku lusozi Sinayi ku lunaku lwe yagamba Abayisirayeli baweereze ebyabwe Omukama mu ddungu ly'e Sinayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda bye yawa Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yalagirirako abaana ba Isirayiri okuleeta ebiweebwayo byabwe eri Mukama Katonda, mu ddungu lya Sinaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama lye yalagira Musa, ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yagambirako abaana ba Isiraeri okuwangayo ebiweebwayo byabwe eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo ku lusozi Sinaayi mu ddungu, Mukama gye yaweera Musa ebiragiro ebyo, ku lunaku lwe yagambirako Abayisirayeli okuwangayo ebitone byabwe eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama lye yalagira Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku kwe yalagirira abaana ba Isiraeri okuwangayo ebitone byabwe eri Mukama mu ddungu lya Sinaayi.