Leviticus 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ow'obulenzi yenna mu lubu lwa bakabona ayinza okukiryako, naye kiriirwanga mu kifo ekitukuvu, anti kitambiro kitukuvu nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kyokka kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu. Kiweebwayo kitukuvu nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli musajja ku bakabona anaakiryangako; kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu; kye kitukuvu ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli musajja ow'omu lulyo lwa bakabona, anaayinzanga okukiryako, naye nga kiriirwa mu Kifo Ekitukuvu, kubanga kitukuvu nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu: kye kitukuvu ennyo.